Latest News

Sipiika Kadaga atongozza SACCO y’abakozi ba Radio Simba n’obukadde 5


Omukubiriza w'olukiiko olukulu olw'eggwanga , Rt. Hon. Rebecca Alitwala Kadaga atongozza SACCO y'abakozi ba Luboggola Simba wakati mu ssanyu n'emizira egimukubidddwa ng'atuuse mu bimuli bya Luboggola Simba e Bukoto era n'agiteekamu obukadde butaano.

Kadaga atuuse ku Luboggola Simba ku ssaawa nga kkuminabbiri ez'akawungeezi era nga ayaniriziddwa akulira Radio Simba (General Manager) Collin Mark Mutambo wamu n'abakulembeze abalala.

Sipiika asiimye nnyo abakulira Radio Simba olw'okuwa abakyala abawerako emirimu ekibongedde amaanyi mu ggwanga . Wano nno era w'asinzidde n'asaba bannannyini Radio okuzimba amaka ga Simba amanene ddala gatuumibwe n'erinnya Simba House. 

Bw'atyo era yeeyamye okuwagira SACCO y'abakozi mu mbeera zonna ate n'okugituusa mu nteekateeka ya Gavumenti esobole okufuna ssente eziwerako !!