Latest News

Engule ya 2017 eggyiddwako akawuuwo, etandikidde mu ggiya


Libadde bbugumu lya maanyi nnyo akawungeezi ka leero ku mpewo za Luboggola Simba nga Ssentebe wa 📻 Simba, ¬†Hajji Aga Ssekalala Jr. aggulawo Engule ya 2017 olukontana olusookedde ddala.¬†

Hajji Aga Ssekalala ayaniriziddwa Ssentebe w’ennyumba y’engule JJ Ssemanda ng’ayambibwako abalala abaweereza Engule omuli, ¬†Waguma Kisuule, ¬†Omuzaana Nansubuga Brenda, Kojja Kigudde ne Kaamusungusungu¬†

Engule eyakazibwako erya World Cup y’olulimi Oluganda, abagisookeddemu olwaleero ¬†be bano :¬†Abakontanyi abakulu, ¬†

Timoseo Mayanja Ziwulugume ow’e Ngabi okuva e Bulemeezi,¬†

Ddamulira Ivan Kakeeto ow’o Mutima ¬†okuva e Buddu

Kasule Herman Busungu eyeddira e Ngeye ¬†okuva mu Kyaddondo n’endukusa zaabwe : Nsamba Erias Kasaato – myaka 08 – P.3

Lwogamata Nsimbiziwoome Yahaya – myaka12 – P.6

Kirumira Phillip Mugaggaaduula – myaka 09 – P.4.

Jjukira Ssengule oba Nangule abuukawo n’obukadde 18 n’ebirabo ebirala ate Endukusa enywedde muzinnewaazo akendo efuna obukadde buna songa ate Endukusa ewangula ne Ssengule efuna obukadde buna .