Latest News

Uganda Cranes ewuttudde Misiri 1-0


Bannayuganda mu buli kanyomero k’eggwanga bavulubanye essanyu akawungeezi ka leero, ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes bw’ewuttudde ginnaayo eya Misiri ku ggoolo emu nga Misiri eyanjala ngalo mu kisaawe e Namboole ( Mandela National Stadium).

Ggoolo ya Yuganda eteebeddwa muyizi tasubwa waayo Emmanuel Okwi mu ddakiika eya 51 era nga omupiira gguno gwa bibinja ogw’okusunsulamu abo abaneetaba mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna ezinaayindira mu ggwanga lya ¬†Russia mu 2018.

Wetwogerera nga kati Uganda y’ekulembedde ekibinja n’obubonero musanvu(7), n’eddirirwa Misiri ( 6) , Ghana (1) ate Congo n’ekwebera nga ekwata mu lyampiki. ¬†Uganda eddamu okusamba Misiri ewaayo ku Lw’okubiri lwa ssabbiiti ejja .