Latest News

Nabbambula w’omuliro ayokezza amayumba g’abaserikale e Katwe


Nabbambula w’omuliro akutte enkambi ya Police ey’e Katwe mu ggombolola y’e Makindye enkya ya leero n’ayokya ebisulo by’abaserikale obuyumba obuwerera ddala kkumi. 

Ayogerera ekitongole kya Police ekizikiza omuliro, ASP Agaba Collin agamba anti ekiviiriddeko omuliro guno nabuli kati tekinnategeerekeka wabula basindiseeyo abakugu okunoonyereza ku kiki ddala ekiviiriddeko omuliro. 

Agaba agamba nti basobodde okukozesa obwangu nebazikiza omuliro guno nebasobola okugutangira okukwata obuyumba obulala ate ne yafeesi za Police. 

Wabula ate ekyewuunyisa abaserikale ku Police eno bwebalabye bannamawulire ababadde bagenze okukwata amawulire gano, nabatanula okubakasukira amayinja okutangira emirimu gyabwe !