Latest News

Museveni alonze omulamuzi Owiny Dollo okumyuka Ssaabalamuzi


Pulezidenti  Yoweri Kaguta Museveni alonze Omulamuzi Alphonse Owiny Dollo okuba omumyuka wa Ssaabalamuzi .

Omulamuzi Owiny Dollo abadde mu kkooti enkulu evunaanyizibwa ku misango gy’ensi yonna era nga azze ku kifo ky’omulamuzi Steven Kavuma atuuse mu myaka 70 egiwummula egigenda okuwera mu mwezi gwa Mutunda omwaka guno.

Pulezidenti alonze n’abalamuzi abalala babiri aba Kkooti ensukkulumu omuli Omulamuzi Richard Butera ne Paul Mugamba .