Latest News

Abawaabi ba Gavumenti basazizzaamu akeediimo


Abawaabi ba Gavumenti ababadde baateeka ebikola wansi bakkaanyizza okuyimiriza akeediimo kaabwe akaatandika ssabbiiti ewedde bwebeevumbye akafubo. 

Enteekateeka y’okusazaamu akeediimo kano erangiriddwa omukulembeze w’ekibiina ekibagatta Batista Bakibinga bwabadde ayogerako ne bannamawulire.

Kino nno kiddiridde  okwevumba akafubo ne Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ekiramuzi ne Ssemateeka,  Kahinda Otafiire ku Imperial Royale Hotel mu Kampala.