Latest News

Bobi Wine asaanudde Palamenti ng’alayira


Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine omukulembeze  wa Ghetto, mu ttuntu lya leero alayiziddwa nga omubaka wa Kyaddondo ey’obuvanjuba .

Kyagulanyi Ssentamu alayiziddwa Clerk wa Palamenti Jane Kibirige, n’alayira okukuuma ssemateeka w’eggwanga n’okussa ekitiibwa mu mateeka agafuga Palamenti.

Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga ayanirizza Kyagulanyi mu Palamenti ey’ekkumi n’amuwa kkopi ya ssemateeka w’eggwanga ne kkopi y’amateeka agafuga Palamenti.