Latest News

Eyaliko Meeya wa Kampala Ssebaana Kizito afudde


Munnabyabufuzi omukuukuutivu, eyaliko Pulezidenti wa DP, Meeya w’ekibuga Kampala eyawummula, Dr. John Ssebaana Kizito afudde.

Ssebaana Kizito afiiridde mu ddwaliro e Nakasero mu Kampala enkya ya leero gyabadde ku kitanda okumala ssabbiiti  bbiri oluvannyuma lw’okuddusibwa mu ddwaliro lino nga afunye okusannyalala okwavaako okukosa ekitundu kye eky’omubiri ekya ddyo nga mwotwalidde n’obwongo era n’ateekebwa ku “Oxygen” .

Ssebaana nga afiiridde ku gy’obukulu 83,  yaliko Meeya w’ekibuga Kampala okumala emyaka musanvu okuva mu 1999 okutuuka mu 2006, n’akulembera ekibiina kya DP okutuuka mu mwezi gwa Mukutulansanja (February) wa  2010 ate nga abadde mugagga omuku banannyini bizimbe  byomu Kampala. 

                  Tuli baakukwongera ebinaddirira ku nsonga eno !