Latest News

Nannyini ttaka tolina buyinza bugobaganya wa kibanja – Museveni


Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alabudde bannannyini ttaka abagobaganya ab’ebibanja nti tebalina buyinza bubasalako era n’ategeeza nti abo bonna abakola ebyo eby’ejjoogo bagenda kubasesemya.

Omukulembeze w’eggwanga okwogera bino asinzidde ku mikolo emikulu egy’okukuza olunaku lw’abazira egiyindidde mu kisaawe ky’e Ziroobwe mu Disitulikiti y’e Luweero n’ategeeza nti mu ssemateeka wa 1995 , ekiragiro ekifuga ettaka kiri nti Ow’ekibanja asigale ku kibanja kye ng’awa nannyini ttaka obusuulu ate Obusuulu bubaako n’ekikomo ekigerekebwa Gavumenti.

”Nannyini ttaka tolina buyinza busalako wa kibanja, tolina buyinza bumugoba, tewali kumuwaliriza kufuna kyapa, bwaba ayagadde okukifuna wa ddembe, bwaba tayagadde asigale ku kibanja”. Pulezidneti Museveni bw’agamba.

Ku mukolo ogwo gwegumu, Pulezidenti Museveni kw’agabidde emidaali eri abantu abali mu 365 nga mu abo mwemubadde Abayimbi nga Omugenzi Paul Kafeero, Fred Masagazi, Elly Wamala, Hadijah Namale n’abalala, ┬áBannakatemba,n’abantu abalala.

1 Comment on Nannyini ttaka tolina buyinza bugobaganya wa kibanja – Museveni