Latest News

Bobi Wine akalulu k’e Kyaddondo akeezesezza lweyo


Robert Kyagulanyi Ssentamu eyakazibwako erya  Bobi Wine omuyimbi abadde avuganya mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka  mu Palamenti owa Kyaddondo ey’obuvanjuba, banne abana baabadde avuganya nabo abamezze n’enkoona nezinywa era abakubisizza kaga. 

Akalulu kano nga kabadde ka kufa na kuwona omwetobese okulwanagana wakati wa Police n’abantu ba bulijjo naddala nga mu bifo awabadde wateeberezebwa okubbirwa obululu nga e Kasangati ku Resort, kiwalirizza n’abebyokwerinda okuleeta zi Mamba ate ne Police ya Military, kabadde ka kayisanyo era oluvannyuma Bobi Wine n’akawuuta. 

Returning Officer wa Disitulikiti y’e Wakiso Francis Nkurunziza asinzidde Kasangati mu kiro ekikeesezza olwaleero  n’alangirira ebivudde mu kalulu nga bitambudde bwebiti : 

Bobi Wine – 25.659

Sitenda Ssebalu owa NRM  – 4.556

Apollo Kantinti owa FDC – 1.832

Muwada Nkunyingi – 575

Kayongo Sowedi Male 377. 

Era wano abantu bangi bavuddeyo okuyozaayoza Bobi Wine omubadde Dr. Kizza Besigye, Nandala Mafabi Ssaabawandiisi wa FDC,    Justine Kasule Lumumba Ssaabawandiisi wa NRM, Nobert Mao,  Amama Mbabazi,   Sitenda Ssebalu abadde avuganya n’abalala bangi. 

6 Comments on Bobi Wine akalulu k’e Kyaddondo akeezesezza lweyo