Latest News

Palamenti esiimye emirimu gya Maria Mutagamba


Palamenti ya Yuganda esiimye emirimu egyakolebwa eyaliko Minisita mu Gavumenti eya wakati ate n’akiikirirako Rakai mu Palamenti,  Maria Lubaga Mutagamba eyafa ekirwadde kya kookolo kunkomerero ya wiiki ewedde. 

Mutagamba omubiri gwe gutwaliddwa ku Ssaawa nnya eza kalasamayanzi mu Palamenti ate  mu budde awo obw’ettuntu Pulezidenti Museveni n’alabikako okukuba eriiso evvannyuma ku eyali Minisita mu Gavumenti ye era n’agamba nti Omugenzi omulimu yakola makula n’oluvannyuma neyeevumba akafubo n’abamu ku b’ennyumba ya Mutagamba awamu ne Sipiika.

Ye Nampala w’ababaka mu Palamenti ab’oludda lwa Gavumenti Ruth Nankabirwa wano w’asinzidde n’agamba nti Pulezidenti Museveni akubidde abaana omulanga bakole ebintu ebitali bimu batuukirize ebirooto bya nnyaabwe era nabo nebakkiriza.

Sssaabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda y’ayanjulidde Palamenti ekiteeso esiime emirimu egyakolebwa Maria Mutagamba nekiwagirwa omubaka Ibrahim Ssemuju Nganda.