Latest News

Eyali Minisita w’ebyobulambuzi Maria Mutagamba afudde


Maria Emily Lubega Mutagamba eyaliko Minisita  avunaanyizibwa  ku nsonga z’ebyobulambuzi (Tourism, World Life and Antiquities) afudde. 

Mutagamba yafiiridde mu ddwaliro lya  Case Clinic mu Kampala akawungeezi akayise  gy’amaze  akabanga ng’ olumbe lumubala embiriizi. 

Omuwandiisi omukulu mu Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga z’ebyobulamu,  Dr. Diana Atwine akakasizza nti Omugenzi Kkansa y’amuviiriddeko kalumanywera okuva mu bulamu bwensi eno.

Maria Mutagamba abadde amanyiddwa nnyo ng’omukyala omukugu mu byenfuna ate munnabyabufuzi atagooka era nga yaweereza mu kifo ky’obwa Minisita w’ebyobulambuzi okuva nga 15 Augusto 2012 okutuuka nga 06 Ssebaaseka 2016. 

Ebisingawo tunaabikwongera. Kitalo!