Latest News

Eddwaliro lya Gavumenti – Mukono Health Center IV teririna bikozesebwa


Akulira eddwaliro  lya Gavumenti erya Mukono Health Center IV Dr. Geofrey Kasirye avuddeyo n’alaajanira Gavumenti okuvaayo mu bwangu ddala ebataase ku bintu byebakozesa mu ddwaliro kuba kino kiviiriddeko omulimu gwabwe okukaluba.

Dr. Kasirye agamba nti embeera gyebalimu, batuuse n’okubulwa ffoomu kwebajjuza ebikwata ku mulwadde (Medical Forms) nga kati alina kugenda ku maduuka agule empapula asobole okuwandiikirako abalwadde, kyagambye nti kino ssikirungi kubanga sibuvunnaanyizibwa bwabwe okubeera nga bakola empapula zino

Mu geri ye’mu agambye nti ebikozesebwa mu ddwaliro biggwawo mangu nnyo olw’abantu ab’enjawulo okuva mu bitundu omuli Kireka, Bweyogerere Kira n’ebitundu ebirala okuba nga bonna baggwera mu  ddwaliro lino.

Dr. Kasirye ayongerako n’ategeeza nti yadde guli bweguti , yo Gavumenti egenda mu maaso n’okubaweereza ebintu  ebikozesebwa ebyenkanankana ne byewa obulwaliro obulala nga Kojja Health Center ate ng’omulimu gwebakola munene okusinga n’eddwaliro ly’e Kawolo gwerikola.