Latest News

Wummula Mirembe Owek. Joash Mayanja Nkangi


Omubiri gwa Oweekitiibwa Joash Mayanja Nkangi eyaliko Katikkiro wa Buganda mu 1966 era Minisita mu Gavumenti eya wakati, gugalamiziddwa mu nnyumba ey’olubeerera ku mutala Kanyogoga mu Disitulikiti y’e Kalungi mu Ssaza ly’e Buddu akawungeezi ka leero wakati mu kusiima emirimu gyonna gyakoze.

Eyawummula egy’obulabirizi bwa Central Buganda mu kkanisa ya Yuganda, The Rt. Rev. Dr. George Ssennabulya mu kubuulira kwe , akubirizza abakungubazi bayigire mu bukozi bwa Mayanja Nkangi.

Rt. Rev.Dr. George Ssennabulya agambye nti Katonda asanyukira abantu abeesigwa nga Mayanja Nkangi bwabadde, n’asaba n’abo abeefunyiridde mu¬†gw’obubbi bakyukire Krisito balokoke.

”Tuyigire ku musajja ono, obwerufu bwabaddeko nammwe mubutwale mu buli ngeri yonna; mu maka, ku byalo, mu Gavumenti eya kati n’eya Buganda, mwenna mutwale obwerufu ensi eryoke egende mu maaso”

Ye Omulabirizi wa Central Buganda omupya, The Rt. Rev Micheal Lubowa agambye nti akola obulungi asiimibwa , bwatyo Mayanja Nkangi bwabadde.

“Oweekitiibwa afiiridde mu mikono gya Mukama waffe Yesu Kristo, twagala okwebaza Katonda nti emyaka gye abadde agimazeeyo, Bayibuli etuwa emyaka 70 okubeera ku nsi, naye akwengezaayo bwoba nga olimu empeke. Mukama y’amututte kubanga ne Mukama ayagala abalungi”. Bwatyo Rt. Rev. Lubowa bwawunzise ebigambo bye .

Okuziika kuno kwetabiddwako Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga, Edward Kiwanuka Ssekandi, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, Abakulembeze b’enzikiriza ezenjawulo, Abakulembeze okuva mu bukulembeze bwensikirano ko ne nasinsi w’omuntu nga kwogasse n’emizinga egikubiddwa okulaga obuzira bwabaddeko .