Latest News

Police ettunse n’omuliro mu kkolero okumala essaawa 7


Police  ezikiza omuliro e Jinja ettunse n’omuliro ogukutte ekkolero ly’ebyennyanja ekiro ekikeesezza olwaleero eriyitibwa Kamic Fish factory erisangibwa ku kyalo Gomba mu Municipaali y’e Jinja.

Ekiviiriddeko nabbambula w’omuliro ono akutte ekiro ssaawa mwenda tekinnategeerekeka naye nga Yingini ezizikiza omuliro munaana zeezireeteddwa okutaasa embeera .

Roger Turinawe, akulira ekitongole ekizikiz  omuliro mu kitundu ky’ e Kiyira agamba nti batuuse ku kkolero lino ssaawa kkumineemu ezookumakya naye nebalemererwa okuguzikiza olw’abzinya mwoto ababadde abatono ddala .

Turinawe ayongerako nti omuliro guno gwatandikidde mabega wa kkolero lino oluvannyuma negubuna okutuuka mu ttanka za ggaasi nezitulika.