Latest News

Kato Lubwama ali ku muliro


Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala, Margret Oguli Oumo aganbye nti Omubaka mu Palamenti eya Lubaga ey’amaserengeta, Kato Lubwama talina buyinza bujulira ku kyasalibwawo kkooti okukkiriza omulonzi Habib Buwembo okugenda mu maaso n’omusango ng’awakanya empapula ze ez’obuyigirize.

Omulamuzi akisimbyeko amannyo n’ategeeza nti etteeka terikkiriza mu eyawawaabirwa kujulira nga waliyo okusaba okwasooka ku ntandikwa y’omusango guno nga kkooti erina kusooka kuwulira musango. Agamba nti Kato Lubwana bw’aba waakujulira, alina kukikola ┬ánga kkooti enkulu emaze kuwulira na kuwa nsala yaayo ku musango guno .

Wabula Puliida wa Kato Lubwama, Asuman Basalira yeerayiridde okugenda mu kkooti ezisingawo nga awakanya kino ekisaliddwawo.