Our Shows and Team

Omuwanguzi wa Neeyimbira bayange akwasiddwa ebyuma .


Kubadde kuvulubana masanyu eri omuwanguzi wa Neeyimbira byange Katikansonzi akawungeezi a leero nga akwasibwa ebyuma bi mufukamiza mikolo byeyawangula mu Neeyimbira byange empaka ezitegekebwa Radio Simba nga ez’akamalirizo zaayindira Kavumba mu Las Vegas we Yuganda nga ennaku z’omwezi 01.05.2016 .

Namungi w’omuntu yakuluumulukuka okuva ebule ne bweya okweyiwa e Kavumba nga buli muntu ayambadde bibye wabula okusingira ddala ebituli wamu n’ebiraka ¬†era ng’ali bibye .

Wabula Musuuza Geofrey (Katikansonzi) yawangula banne 24 bwebaatuuka ku mpaka z’akamalirizo naye okuviira ddala kuntandikwa banneeyimbira baggyanga bawanduka okuva ku Whisper Club e Kanyanya .

Ebyuma bimukwasiddwa akulira Radio Simba (General Manager) omwami Collin Mark Mutambo .